Jeremiah 42

1 aAwo abaduumizi ba magye bonna, ng’ogasseeko Yokanaani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu baatuukirira 2 bnnabbi Yeremiya ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, wulira okusaba kwaffe osabe Mukama Katonda wo ku lw’abantu bano bonna abafisseewo. Kale naawe nga bw’olaba, abaali abangi kaakano tusigaddewo batono nnyo. 3 cSaba Mukama Katonda wo atubuulire gye tusaanye okulaga ne kye tusaanye okukola.”

4 dNnabbi Yeremiya n’abagamba nti, “Mbawulidde, ddala nzija kubasabira eri Mukama Katonda wammwe nga bwe munsabye; nzija kubabuulira byonna Mukama by’anaŋŋamba, sirina kye nnaabakisa.”

5 eAwo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abeere omujulirwa ow’amazima era omwesigwa gye tuli, bwe tutalikola kyonna Mukama Katonda wo ky’anaakutuma okutugamba. 6 fOba kyangu oba kikalubo tujja kugondera Mukama Katonda waffe, gye tukutuma kaakano, tulyoke tufune emirembe, kubanga tujja kugondera Mukama Katonda waffe.”

7Bwe waayitawo ennaku kkumi ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya. 8 gN’alyoka ayita Yokanaani omwana wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye lya Yuda bonna abaali naye, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu. 9 hN’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri, gye mwantuma okubabuuliza nti, 10 i‘Bwe munaasigala mu nsi eno, nzija kubazimba era siibaleke kugwa. Nzija kubasimba so si kubasimbula, kubanga nnumiddwa olw’ekikangabwa kye mbatuusizzaako. 11 jTemutya kabaka w’e Babulooni, kaakano gwe mutya. Temumutya, bw’ayogera Mukama, kubanga ndi nammwe era nzija kubalokola, mbanunule mu mukono gwa kabaka oyo. 12 kNzija kubalaga ekisa alyoke abakwatirwe ekisa, abakomyewo mu nsi yammwe.’

13 l“Wabula bwe mugamba nti, ‘Tetuusigale mu nsi eno gye mbakomezzaamu,’ olwo munaaba temugondedde Mukama Katonda wammwe. 14 mBwe mugamba nti, ‘Nedda, tujja kugenda tubeere e Misiri, gye tutaalabe ntalo wadde okuwulira ekkondeere nga livuga oba okubulwa omugaati ogw’okulya,’ 15kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaasigalawo mu Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Bwe munaamalirira okugenda e Misiri era ne mugenda okubeererayo ddala, 16 nolwo ekitala kye mutya kijja kubasanga eyo, n’enjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri era eyo gye mulifiira. 17 oMumanyire ddala nti, Abo bonna abamaliridde okugenda e Misiri okusenga eyo balifa kitala, n’enjala ne kawumpuli; tewaliba n’omu alisigalawo wadde okuwona ekikangabwa kye ndibaleetako.’ 18 pBw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’

19 q“Mmwe abafisseewo ku Yuda, Mukama abagambye nti, ‘Temugenda Misiri.’ Mumanye kino nga mbalabula leero 20 rnti, Mwakola ekisobyo kinene bwe mwantuma eri Mukama Katonda wammwe ne mugamba nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe: tubuulire byonna by’agamba tujja kubikola.’ 21 sMbabuulidde leero, naye era temugondedde Mukama Katonda wammwe mu byonna bye yantuma okubagamba. 22 tKale nno mutegeerere ddala kino nga mulittibwa na kitala, oba njala oba kawumpuli mu nsi gye mwagala okugenda okusengamu.”

Copyright information for LugEEEE